AYM 98 Sirina Kirala
Versi Version 1
1
Sirina kirala wabula ntendereza
Yebazibwe, yebazibwe.
Sirina kirala wabula ntendereza
Nengenda nga ntendereza.
Ntendereza Yesu olw'okunjagala
Ntendereza, ye yamponya
Ntendereza Yesu olw'okunjagala
Ntendereza, Hallelujah
2
Bulamu bwali mu kabi Yesu ye yamponya
Ye yamponya bambi ye yamponya
Bulamu bwali mu kabi Yesu ye yamponya
Nengenda nga ntendereza
3
Naleekanira ku lusozi Yesu ye yamponya
Ye yamponya, bambi ye yamponya
Naleekanira ku lusozi Yesu ye yamponya
Nengenda nga ntendereza.

OK